e 2By 15:15 nny 21, 118
g nny 26
n nny 10
u nny 12
y nny 20
ah 1Bk 13:6 nny 41
av nny 41
aw Yer 50:32 nny 86, 161
bm nny 128
br Zab 140:5; 141:9 nny 10
bs nny 33
bu Zab 32:7; 91:1 nny 74
ca nny 82
cb nny 12
ce nny 104, 163
cg Zab 42:1 nny 20
cv Zab 34:18; 145:18 nny 142
dm nny 166

Psalms 119

א Alefu

1 aBalina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 bBalina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
3 cAbo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
4Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
5Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
nga nkuuma bye walagira.
6Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
7Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
8Nnaakwatanga amateeka go;
Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
ב Bessi

9 dOmuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 eNkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 fNtadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 gOgulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 hNjatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 iNnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 jNnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
ג Gimero

17 kOmuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
ngobererenga ekigambo kyo.
18Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 lNze ndi muyise ku nsi;
tonkisa bye walagira.
20 mBulijjo emmeeme yange
eyaayaanira amateeka go.
21 nOnenya ab’amalala, abaakolimirwa,
abaleka amateeka go.
22 oMponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
kubanga bye walagira mbigondera.
23Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24Amateeka go lye ssanyu lyange,
era ge gannuŋŋamya.
ד Daleeti

25 pNzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 qNakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
onjigirize amateeka go.
27 rNjigiriza amateeka go bye gagamba,
nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 sEmmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30Nonzeewo okubeera omwesigwa;
ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 tNnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
tondeka kuswazibwa.
32Bw’onoosumulula omutima gwange,
nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
ה Eh

33 uNjigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35Ntambuliza mu mateeka go,
kubanga mwe nsanyukira.
36 vOkyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 wKyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 xTuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
kubanga ebiragiro byo birungi.
40 yLaba, njayaanira ebiragiro byo;
onkomyewo mu butuukirivu bwo.
ו Waawu

41Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 zndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
kubanga neesiga kigambo kyo.
43Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
emirembe n’emirembe.
45Era nnaatambulanga n’emirembe,
kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 aaEra nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
nga sikwatibwa nsonyi.
47Kubanga nsanyukira amateeka go,
era ngaagala.
48Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
ז Zayini

49Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 abEkiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 acAb’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 adBwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 aeNkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 afMu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi

57 agGgwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 ahNkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 aiBwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 ajNewaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 akNzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 alNtambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 amEnsi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
ט Teesi

65Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 anBwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 aoAyi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
onjigirize amateeka go.
69 apAb’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 aqOmutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
naye nze nsanyukira amateeka go.
71Okubonerezebwa kwangasa,
ndyoke njige amateeka go.
72 arAmateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
י Yoodi

73 asEmikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 atAbo abakutya banandabanga ne basanyuka,
kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 auMmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
era wali mutuufu okumbonereza.
76Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 avKkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 awAb’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79Abo abakutya bajje gye ndi,
abategeera amateeka go.
80Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
nneme kuswazibwa!
כ Kaafu

81 axEmmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 ayNtunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka
Ensawo ez’eddiba eza wayini atanakaatuuka, zaawanikibwanga waggulu omukka guziyiteko, wayini akaatuuke mangu. Oluvannyuma, ensawo ey’eddiba teyakozesebwanga nate, era yasuulibwanga
,
naye seerabira bye walagira.
84 baAyi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 bbAbantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
be bo abatagondera mateeka go.
86 bcAmateeka go gonna geesigibwa;
abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 bdBaali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
ל Lamedi

89 beAyi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
kya mirembe gyonna.
90 bfObwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
watonda ensi era enyweredde ddala.
91 bgAmateeka go na buli kati manywevu;
kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93Siyinza kwerabira biragiro byo;
kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94Ndi wuwo, ndokola,
kubanga neekuumye bye walagira.
95Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96Ebintu byonna biriko we bikoma
naye amateeka go tegakugirwa.
מ Meemu

97 bhAmateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 biAmateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 bjNtegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 bkNeekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 blEbisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 bmMu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni

105 bnEkigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 boNdayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 bpOkkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 bqNewaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 brAbakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 bsOmutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
ס Sameki

113 btNkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 buGgwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 bvMuve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 bwOnnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 bxAbakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 byNkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
ע Ayini

121Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 bzOkakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 caAmaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 cbNze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
era onjigirize amateeka go.
125 ccNdi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 cdNaye nze njagala amateeka go
okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 ceKubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
פ Pe

129Ebiragiro byo bya kitalo;
kyenva mbigondera.
130 cfEbigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 cgNjasamya akamwa kange ne mpejjawejja
nga njaayaanira amateeka go.
132 chNkyukira, onkwatirwe ekisa,
nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 ciOluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 cjMponya okujooga kw’abantu,
bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 ckOntunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
era onjigirizenga amateeka go.
136 clAmaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
olw’abo abatakwata mateeka go.
צ Tisade

137 cmOli mutuukirivu, Ayi Katonda,
era amateeka go matuufu.
138 cnEbiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
era byesigibwa.
139 coNnyiikadde nnyo munda yange,
olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 cpEbisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
kyenva mbyagala.
141 cqNewaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 crObutuukirivu bwo bwa lubeerera,
n’amateeka go ga mazima.
143Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
amateeka go ge gansanyusa.
144 csEbiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
ק Koofu

145Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
Nnaagonderanga amateeka go.
146Nkukaabirira, ondokole,
nkwate ebiragiro byo.
147 ctNgolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 cuSeebaka ekiro kyonna
nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
kyokka bali wala n’amateeka go.
151 cvNaye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 cwOkuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.
ר Leesi

153 cxTunuulira okubonaabona kwange omponye,
kubanga seerabira mateeka go.
154 cyOmpolereze, onnunule,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 czAbakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
kubanga tebanoonya mateeka go.
156 daEkisa kyo kinene, Ayi Mukama,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 dbAbalabe abanjigganya bangi,
naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 dcNnakuwalira abo abatakwesiga,
kubanga tebakwata biragiro byo.
159Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
n’amateeka go ga lubeerera.
ש Sini ne Sikini

161 ddAbafuzi banjigganyiza bwereere,
naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 deNsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
ng’oyo afunye obugagga obungi.
163Nkyawa era ntamwa obulimba,
naye amateeka go ngagala.
164Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
olw’amateeka go amatuukirivu.
165 dfAbo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
tewali kisobola kubeesittaza.
166 dgNnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167Ŋŋondera ebiragiro byo,
mbyagala nnyo nnyini.
168 dhBuli kye nkola okimanyi,
era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
ת Taawu

169 diOkukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 djOkwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
onnunule nga bwe wasuubiza.
171 dkAkamwa kange kanaakutenderezanga,
kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 dlOmukono gwo gumbeerenga,
kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 dmNeegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 dnOmpe obulamu nkutenderezenga,
era amateeka go gampanirirenga.
176 doNdi ng’endiga ebuze.
Onoonye omuddu wo,
kubanga seerabidde mateeka go.
Copyright information for LugEEEE